Hosea 9:11-17

11 aEkitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12 bNe bwe balikuza abaana baabwe,
ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
bwe ndibavaako.
13 cNalaba Efulayimu
ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
abaana be ne battibwa.

14 dBawe Ayi Mukama Katonda.
Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
obawe n’amabeere amakalu.
15 eOlw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16 fEfulayimu balwadde,
emirandira gyabwe gikaze,
tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.

17 gKatonda wange alibavaako
kubanga tebamugondedde;
baliba momboze mu mawanga.
Copyright information for LugEEEE